Isaiah 59:2-13

2 aNaye obutali butuukirivu bwammwe
bwe bubaawudde ku Katonda wammwe.
Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge,
n’atawulira.
3 bKubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi
n’engalo zammwe zibunye obutali butuukirivu,
emimwa gyammwe gyogedde eby’obulimba,
n’ennimi zammwe z’ogedde eby’ekko.
4 cTewali awaaba bya nsonga
so tewali awoza mu mazima;
Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera eby’obulimba,
ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
5 dBaalula amagi ag’essalambwa
ne balanga ewuzi za nnabbubi:
alya ku magi gaabwe afa
n’eryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
6 eNaye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba,
ziri ng’engoye enkole mu wuzi za nnabbubi!
Tebasobola kuzeebikka.
Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, n’ebikolwa byabwe bulabe.
7 fEbigere byabwe byanguyirira bikole ebibi
era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango.
Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi,
n’okuzika n’okuzikiriza bye biba buli we bagenda.
8 gEkkubo ery’emirembe tebalimanyi
wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe.
Beekubidde amakubo,
tewali n’omu agayitamu afuna emirembe.

9 hAmazima gatuli wala,
n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 iTuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
ne tuba ng’abafu.
11 jFfenna tuwuluguma ng’eddubu
ne tusinda nga bukaamukuukulu.
Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere,
n’obulokozi butuliwala.
12 kKubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go
era ebibi byaffe bitulumiriza,
kubanga ebisobyo byaffe biri naffe,
era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13 lobujeemu n’enkwe eri Mukama
era n’okulekeraawo okugoberera Katonda waffe.
Okutegeka obwediimo n’okunyigiriza,
okwogera eby’obulimba n’emitima gyaffe bye girowoozezza.
Copyright information for LugEEEE